138 – Nnakugoberera Yesu

138. Nnakugoberera Yesu.… ~ I Will Follow Thee, My Saviour…

1 of 5 verses

Nnakugoberera Yesu,
Yonna gy’onantwalanga
Gy’ogenda nange
nnagenda Yesu
nkugoberere.

Chorus:
Nnakugoberera Yesu,
Ggwe eyanfirira nze;
Bonna ne bwebakuleka,
Nze nnaakugoberera

2 of 5 verses

Mu kkub(o) omuli
amaggwa,
Ezzibu
ng’ennyanj(a) embi
Gwe eyansooka
okugenda,
Nnakugobereranga

3 of 5 verses

Bwennaabonyabonyezebwa,
Mu bikemo ebizibu
Nzijukiza wakemebwa
Nsanyuke ngoberere

4 of 5 verses

Bwe naaba wano mu (e)nnaku,
Nga njabuliddwa bonna
Ggwe eyayabulirwa bonna,
Nze nnaakugoberera.

5 of 5 verses

Bw’ontwala ku yoludaani,
Nsomoke amayengo
Gw(e) eyansooka okusomoka,
Siitye nnaagoberera

Back to top button