135 – Kye Kiseera Ky’okusaba

135. Kye Kiseera Ky’okusaba.… ~ Sweet Hour of Prayer…

1 of 3 verses

Kye kiseera ky’okusaba,
Ka nve ku bigambo
by’ensi;
Ka ngende eri Kitange
ntwal(e) obuzibu bwange.
Mu biro by’entalo zange,
Kampeebwe okuwummula,
Anamponya omulabe,
Nange ndyoke
musinzenga.

2 of 3 verses

Kye kiseera ky’okusaba,
Ntwala ebigambo byange,
Eri Oyo omwesigwa,
Ansanyusa bwenetaaga,
Atangoba mu maaso ge
Nga nesig(a) ekigambo
kye,
Kamukwase buli kintu,
Mu kiseera ky’okusaba.

3 of 3 verses

Kye kiseera ky’okusaba,
Angumyenga mu bikemo;
Ayimus(e) omwoyo gwange,
Andage amaka gange.
Bwalinnyambaz(a) ogutafa.
Ng’ampadde ekirabo kye,
Ndiyimba n’essanyu lingi,
Nga ngenda eyo ewaffe

 

Exit mobile version