133 – Buli Wantu Wonna
133. Buli Wantu Wonna.… ~ Anywhere With Jesus…
1 of 3 verses
Buli wantu wonna
Yesu gy’antwala,
Buli wantu wonna
siriiko kye ntya;
Yesu bw’aba nga
w’ali mba n’essanyu,
Yesu nga w’ali mbeera
n’emirembe.
Chorus:
Mukama w’obeera
Siriiko kye ntya:
Buli wantu wonna
Nga ndi ne Yesu
2 of 3 verses
Buli wantu wonna
Yesu tondeka,
Bonna nga bandese
Ggwe beera nange;
Bw’ompisa mu kkubo
ery’akanyigo,
Jjangu kumpi nnyo
nga bwe wassubiza!
3 of 3 verses
Wonna we nsula nga ndi
wano naawe, Oba nga kifo
kya kubonabona;
Ntegeera nga Ggwe olimponya
byonna, Yesu w’obeera
ennaku ziggwawo.