126 – Nkwetaaga Bulijjo
126. Nkwetaaga Bulijjo.… ~ I Need Thee…
1 of 5 verses
Nkwetaaga bulijjo,
Ayi Yesu; Sirina mirembe
Wantu wonna.
Chorus:
Nkwetaaga ayi Yesu,
Bulijjo nkwetaaga;
Ompe omukisa gwo,
Jjangu gyendi.
2 of 5 verses
Netaaga obeere Kumpi nange;
Ebikemo byonna
Ggwe obigoba.
3 of 5 verses
Nkwetaaga mu ssanyu
Ne mu nnaku,
Ggwe obeere nange,
Nneme (o)kufa.
4 of 5 verses
Onjigirizenga
By’oyagala, Ebisuubizo byo,
Bibe mu nze.
5 of 5 verses
Ekiseera kyonna.
Ayi Mukama Netaaga onfuule
Omwana wo.