121 – Nze Omwonoonyi
121. Nze Omwonoonyi Lukulwe.… ~ Chief of Sinners…
1 of 3 verses
Nz(e) omwonoonyi lukulwe,
Yesu yafa ku lwange
Yafa mbeere mu ggulu,
Yafa nze nneme okufa;
Ng’etabbi ku zzabbibu,
Ndi wuwe naye wange.
2 of 3 verses
Okwagala kwe kungi Kutuuka waggulu nnyo;
Era kukka wansi nnyo Kwo kwa mirembe gyonna;
Yannonya n’anzuula nze
Nga Sinnamukowoola!
3 of 3 verses
Omwonoonyi lukulwe,
Kristo ye byonna gyendi;
Amanyi byeneetaga,
annumirwak(o) ennaku;
Nze bwemba naye sitya
Abeera ngabo yange…