117 – Wanaazibwa Mu Musaayi
117. Wanaazibwa Mu Musaayi… ~ Have You Been to Jesus?…
1 of 4 verses
Wanaazibwa mu musaayi gwa Yesu,
(O)musaayi gw’omwana gw’endiga?
Wesige ekisakye olwa’leero,
Onaabye mu musaayi gwa Yesu
Chorus:
Onnabye Mu Musaayi, Ogwa
Yes(u) ogunaaz(e) ekibi?
(E)Ngoye zo zitukudde ng’omuzira, onaabye mu”
musaayi gwa Yesu?
2 of 4 verses
Bulijjo gwe otambula ne Yesu.
Onaabye mu musaayi gwa Yesu?
Wekwese mu Yesu eya komererwa,
Onaabye mu musaayi gw Yesu?
3 of 4 verses
Bwalijj(a) alisang(a) engoye zo njeru,
Zozeddwa mu musaayi gw’endiga?
“Oliba osanidde gwe eggulu,”
Ng’onaabye mu musaayi gw’endiga?
4 of 4 verses
Yambul(a) engoye zikongedd(e) ekibi;
“Onaabe mu musaayi gw’endiga
Waliw(o) ensul(o) ekulukut(a) enaaza,”
Naazibwa mu musaayi gw’endiga