115 – Njija Ku Musalaba

115. Njija Ku Musalaba… ~ I am Coming To The Cross…

1 of 4 verses
Njija ku musalaba,
Nze omunaku ennyo.
Byonn(a) eby’ensi si kintu
Njagala bulokozi.

Chorus:
Nesiga ggwe, Mukama,
Ggwe omwana gw’endiga
Eyafa kulw(a) ababi,
Ndokola ayi Yesu.

2 of 4 verses
Nsaba mbeere ne Yesu,
Naye siri mulungi,
Ye yekka annongose,
Kubanga yansuubiza.

3 of 4 verses
Byonna mbiwaayo gy’oli,
Emikwano ne byonna,
Omwoyo n’omubiri,”
Byonna bibenga bibyo.

4 of 4 verses
Yesu bw’obeera mu nze,
Mbeera mutuukirivu,
Nnongoosebwa mu byonna,”
Nkwebaza Ayi Yesu

Back to top button