112 – Ggwe Okooye Onafuwadde
112. Ggwe Okooye Onafuwade… ~Art Thou Weary, Art Thou ?…
1 of 7 verses
Ozitowereddwa okooye onafuwadd(e)?
Yesu agamba Genda gy’ali owummule!
2 of 7 verses
Alina bubonero ki obumundaga?
(E)Nkovu mu bibatu ne ku bigere
3 of 7 verses
(O)mutwe Ggwe gulik(o) engule y’obwakabaka?
Guliko engule, naye ya maggwa
4 of 7 verses
Nze okumugoberera nfunamu kiki?
Okukola n’amaziga, n’ennaku
5 of 7 verses
Bwemmulemerako Yesu Edd(a) alimpa ki?
Oliwangul(a) amagombe n’okufa
6 of 7 verses
Bwemmusab(a) okunsembeza tangobe waali?
Okugoba, nedda, nedda; tayinza
7 of 7 verses
Bwe ng’umira byonna byonn(a) alimp(a) omukisa?
Abatukuvu bagamba, Wewaawo!