109 – Buli Muntu Yenna
S.D.A Hymnal 3
109. Buli Muntu Yenna Awulire.… ~ Whosoever Heareth…
1 of 3 verses
Buli muntu yenna awulire
Ebigambo by’Omulokozi w’ensi,
Bunya wonna wonna nti
akkiriza, Alirokoka mu ye.
Chorus:
Buli awulira, ekigambo kye
Ategeez(e) abalala
Mu nsi yonna;
Kitaffe ayita- komawo
Eka Buli awulidde— jjangu
2 of 3 verses
Buli muntu yenna asembere
Oluggi (o)lw’omu ggulu
lugguddwawo,
Yesu ge mazima,
lye kkubo lyaffe,
Ekibalwisa kiki?
3 of 3 verses
Buli muntu yenna ayagala,
Ekigambo kya
Katond(a) atalimba:
Kale bannange,
tubuny(e) ettendo lye,
Atugabidde buwa.