108 – Wulira Eky’essanyu

S.D.A Hymnal 3

108. Wulira Eky’essanyu.… ~ We Have Heard…

1 of 4 verses

Wulira eky’essanyu,
Yesu alokola.
Ka tukibunye wonna,
Yesu alokola.
Bunyisa mu nsi
zonna,
Ku nsozi n’ebizinga,
Katonda
bw’atugamba,
Yesu alokola.

2 of 4 verses

Bulira buli muntu,
Yesu alokola.
Tegeeza abonoonyi,
Yesu asonyiwa.
Mmwe (e)bizinga
muyimbe,
N’amayengo
ge nnyanja,
Ensi eyogaane nnyo,
Yesu alokola.

3 of 4 verses

Muyimbe mmw(e)
abalwanyi,
Yesu alokola.
Olw’okufa kwe kwokka,
Yesu alokola.
Ne bw’obeera mu
nnaku,
Ng’olumwa mu mwoyo
gwo,
Ne mu kufa yimba nti,
Yesu alokola.

4 of 4 verses

Yimba nnyo mu
bbanga nti,
Yesu alokola.
Ensi zonna ziyimbe,
Yesu alokola.
Obulamu bwa buwa
Bulira mu mawanga,
Kwe kuwangula
kwaffe,
Yesu alokola.

 

Exit mobile version