105 – Omusumba Omulungi Akuyita

105. Omusumba Omulungi Akuyita.… ~ Lovingly, Tenderly Calling…

1 of 3 verses

Omusumba
(o)mulungi
Akuyita leero;
Jjangu mu kisibo
kye,
Owummule mu ye.
Obanga oli mukadde,
Oba muvubuka
Wulira eddoboozi lye,
Yingira mu (e)kkubo
lye

Chorus:

Akuyita n’ekisa
ekingi,
“Jjangu gyendi
eyakyama edda;
Komawo ggwe
nga omutambuze,
Komawo gyendi
nate.”

2 of 3 verses

Omusuumb(a)
omulungi
yawaayo (o)bulamu;
Kakano akuyita
Agamba nti,
“Jjangu,
Dduka oleme okufa,
Waliwo akabi:
Obanga oli mukadde,
oba muvubuka.”

3 of 3 verses

Tolwa naye
yanguwa
Dduka emisege:
Eginoonya endiga
Enkulu n’obuto.
Omusumb(a)
omulungi
Akuyita “Tolwa;
Jjangu gyendi
kakano,
Owummule mu
Nze.”

Exit mobile version