S.D.A Hymnal 341
8. Okukaaba Kwange Owulire… ~ O hear My Cry…
1 of 4 verses
Okukaaba kwange
owulire,
Jjangu omulokozi;
Omwoyo gwange
gukwetaaga nnyo,
Jjangu omulokozi.
CHORUS:
Nakyama okuva mu
kkubo lyo,
Mbulubutira mu
ddungu;
Ntwala onzize mu
kisibo kyo,
Jjangu omulokozi.
2 of 4 verses
Sirina buddukiro bulala,
Jjangu omulokozi;
Amaaso go ge gampa
(o)bulamu,
Jjangu omulokozi.
3 of 4 verses
Ekkubo limbuze, nkoye
nnyo,
Jjangu omulokozi;
Era (e)ssuubi lyange
lizirika,
Jjangu omulokozi.
4 of 4 verses
Togobanga mmeme
emenyese,
Jjangu omulokozi;
Onokiriza (o)kusaba
kwange,
Jjangu omulokozi.