S.D.A Hymnal 341
7. Mukama Gwe Kifo Kyaffe… ~ O God Our Help In Ages Past…
Mukama Ggwe kifo kyaffe,
Eky’okutuulamu,
Mu mirembe n’emirembe
Era Lwazi lwaffe,
2 of 6 verses
(O)kuva’edda abatukuvu
Baakwesiganga Ggwe;
(O)Mukono gwo gwabamala
Gunatumala ffe.
3 of 6 verses
Ensi nga tenatondebwa
Ebintu nga mpaawo,
Edda n’edda gw’oba
bumu
Katond(a) atavaawo.
4 of 6 verses
Emyak(a) olukumi
gy’oli
Lwe lunaku lumu;
Gikulukuta ng’a amazzi
Agayita (a)mangu.
5 of 6 verses
N’ebintu byonn(a)
eby’omu nsi
Biyita bwe bityo,
Leero tuba nabyo, naye
Jjo nga biweddewo.
6 of 6 verses
Mukama Ggwe kifo kyaffe,
Ekyokutuulamu,
Mu mirembe n’emirembe
Era Lwazi lwaffe,…