03 – Aweebwe Ekitiibwa
S.D.A Hymnal 341
3. Aweebwe Ekitiibwa… ~ To God be The Glory…
1 of 3 verses
Aweebw(e)
ekitiibwa Katonda
waffe;
Yayagal(a)Ensi
n’awaay(o)
Omwana we
Yafuuka Saddaaka
Y’ekibi kyaffe;
Naggulaw(o)
oluggi ffe tuyingire
Chorus
Tumutendereze,
Ensi ewulire;
Tuyimbe tuyimbe,
Ensi Esanyuke;
Mujj(e) eri kitaffe
mu Mwana Yesu;
Aweebw(e)
ekitiibwa
yatununula.
2 of 3 verses
Twanunulibwa
twagulwa musaayi;
Kisuubizo eri buli
akiriza;
Omubi lukulwe
amukiriza,
Asonyiyibwa ebibi
bye byonna
3 of 3 verses
Atuyigiriz(a)
ebikulu bingi,
N’essanyu lingi
lyatuwa mu Yesu;
Oyo Mutukuvu
mugulumivu,
Kiriba kisuffu nga
tumulabye