75 – Omusingi Gwaffe Munywevu

S.D.A Hymnal 509

75. Omusingi Gwaffe Munywevu.… ~ How Firm a Foundation…

1 of 4 verses
Omusingi gwaffe munywevu ddala
Kye kigamba kya Yes(u) ekitukuvu
Kituukirivu so tekyabulako
Fuulanga Yesu ekiddukiro kyo,
Fuulanga Yesu ekiddukiro kyo.

2 of 4 verses
Bw’onoyitanga mu nnyanja totyanga
Mu migga gy’ennaku tewekanganga;
Kubanga nabeeranga wamu naawe
Nakuwonyanga mu nnaku zozonna.
Nakuwonyanga mu
nnaku zo zonna.

3 of 4 verses
Mu bikemo ebiri mu kkubo lyo
Ekisa kyange kinakuyambanga.
Tebigenda kukukolako kabi,
Naye olivaamu ng’olongosebbwa,
Naye olivaamu ng’olongosebbwa.

4 of 4 verses
Omuntu bwe yenywereza ku Yesu
Alimuwonya (a)balabe be bonna,
Ne mu magye gonna ag’omulabe,
Tagenda kumuleka n’akatono,
Tagenda kumuleka n’akatono.””

Back to top button