01 – Gw’Oli Mutukuvu

S.D.A Hymnal 73

  1. Gw’oli Mutukuvu… ~ Holy, Holy, Holy…

1 of 4 verses

Gw’oli Mutukuvu, Ayinza
byonna! Buli ku nkya
tunakutenderezanga;
Oli Mutukuvu, w’akisa wa
manyi, Katond(a) afuga
ebintu byonna.

2 of 4 verses

Gw’oli Mutukuvu,
bakutendereza,
Bamalayika bo bakuvunamira;
(E)nkumi,n’obukumi
bakusiinza wonna
Ggw(e) eyaliwo, era olibaawo.

3 of 4 verses

Gw’oli Mutukuvu,
newankubadde
Nga tetukulaba n’amaaso
(a)g’obuntu,
Gw’oli Mutukuvu,Tewali
mulala
Atuukiridde mu maanyi
gonna.

4 of 4 verses

Gw’oli Mutukuvu, Ayinza
Byonna!
Emirimu gyo gitenda
erinnya lyo;
Gw’oli Mutukuvu,
W’akisa wa maanyi;
Katond(a) omu, Ali mu
busatu

 

Exit mobile version